Skip to content Skip to footer

Omusajja asambye mukyala we n’amutta

Bya Abubaker Kirunda

Poliisi e Jinja ebakanye nomuyiggo ku musajja owemyaka 35, agambibwa okutemula mukyala we.

Abed Gulume nga mutuuze we Bulama mu gombolola ye Buyengo, e Jinja kigambibwa yakidde mukyala we Rose Gulume owemyaka 29, namusambasama, bwebafunyemu obutakanya ekyamuviriddeko okufa.

Atwala poliisi poliisi ye Buyengo Joseph Joka agambye nti ono, olwamaze okutta mukazi we yapangiszza, pikipiki nabulawo.

Omukazi basoose kumudusaako mu kalwlairo ka Kivejinja health centre e Buwenge, gyasirizza ogwenkomereo.

Leave a comment

0.0/5