Omusajja atanategerekeka yekasuse okuva ku mwaliriro ogwomukaaga neyekata wansi nafiirawo wali ku ddwaliro ekkulu e Mulago. Akulira poliisi ye Mulago Hashim Kasinga agamba tekinategerekeka oba ono abadde mulwadde oba mugenyi mu ddwaliro lino.