Bya Ruth Anderah
Akulira kooti enkulu ewuliriza emisango egya nagomola era ejisukka ensalo, Moses Mukiibi ataddewo olunnaku omusango gw’omusinga wa Rwenzururu Charles Wesley Mumbere n’abambowa be 159, lwegugenda okutandika okuwulirwa.
Okwetegekera omusango guno, n’okutema emagi kwebanatambulira kwakusooka kubeera mu maaso gomulamuzi Michael Elubu mu wiiki esembayo eyomwezi guno ku Law Development Centre.
Wabula omusango ogwawamu gwakuwlirwa mu maaso gabalamuzi 3 Duncan Gaswaga, Eva Luswata ne Susan Okalany.
Mumbere ne banne bavunanibwa emisango gya butujju, obutemu, okugezaako okutta n’emiralala.
Okusinziira ku ludda oluwaabi emisango baajizza mu July ne Novermber wa 2016 mu bitundu ebyenjawulo ku kyalo Bukara mu gombolola ye Kabonero neku kyalo Nyabutsi mu gombolola ye Karangura mu district ye Kabalore.