Skip to content Skip to footer

Abe Kagoma ne Kawanda basse ababbi 3 abalumbye ebyalo

Bya Kato Joseph

Abatuuze be Kagoma ne Kawanda mu district ye Wakiso bakyagaanye okukola statimwenti ne poliisi, bwebasse abantu 3 ku ababalumbye nga bebagalidde ebyambe mu kiro ekyakesezza olunnaku lwe ggulo.

Abatuuze bagamba nti abasajja 14 bebatabadde ebyalo, wabula nebakwatirizaako 3 nebabatta.

Kati omwogezi wa poliisi mu Kampala nemirraano Luke Owoyesigyire, agambye nti basabye abatuuze bababulire ekyaliwo, naye bagaanye bogera kimu nti nabo baali betaasa.

Owoyesigyire agambye nti ababbi 11 bebasimattuka, abatuuze bwebaali batayizza.

Poliisi egamba nti etandise okunonyererza, okuzuula abalala gyebaddukidde kubanga bandikomawo nebakola obulabe ku batuuze mungeri yokwesasuza.

Gyo emirambo gyababbi kati gikumibwa mu gwanika e Mulago, abenganda tebanajinona.

Leave a comment

0.0/5