Skip to content Skip to footer

Omusawo ow’ekikwangala akwatidwa e Kabale.

Bya samuel ssebuliba

E Kabale agavaayo galaga nga Police bwetandise okunonyereza ku musajja agambibwa okwefuula omusawo n’atandika okukuba abantu empiso.

Akwatiddwa ategerekese nga Alex Arineitwe owe myaka 47 nga  ono mutuuze we Kashakyi mu gombolola ye Bubare Rubanda district.

Okunonyereza okusooka kulaze nga omusawo ono bwabadde akozesa owa bodaboda okutabaala ebyalo nga ajanjaba abantu, kyoka ebintu okumwononekera kyadiridde ogugaana okusasula owa bodaboda abade amutambuza, okukakana nga amututte ku police.

Ayogerera police yeeno Elli Matte  agambye nti  police egenze okwekebejja ekiveera omusajja ono mwabdde atambulize edagala nga mulimu amakerenda , kko n’empiso, wamu n’empeke ez’ekizaala gumba.

Mukaseera kano agenda mu kooti ku bitebya.

Leave a comment

0.0/5