Skip to content Skip to footer

Omusinga akkiriziddwa okugenda ebweru ajanjabibwe

Bya Ruth Anderah, Kkooti enkulu ekkiriza Omusinga w’e Rwenzururu Charles Wesley Mumbere, agende ebweru w’eggwanga okulongosebwa amaaso.

Omulamuzi Margaret Oguli Oumo amulagidde okweyanjulanga ku kitebe kya bambega, buli lwa bbalaza olusooka mu mwezi wabula amugaanye okugenda e Kasese.

Ku nsonga z’eby’okwerinda mu maka g’omusinga, omulamuzi agambye nti buvunyizibwa bwa gavumenti okusalawo eby’okwerinda ebimugwana.

Omusinga yaddukira mu kkooti eno ng’ayagala bamukendereze ku bukwakulizo bwe baamutekako, bweyali aweebwa okweyimirirwa nga baali bamulagira okubeera mu disitulikiti 3 okuli Kampala, Mukono ne Wakiso awatali kugenda mu kitundu kye.

Mumbere avunaanibwa emisango okuli obutujju, obutemu, obwakkondo n’okugezaako okutta

Omumbere yakwatibwa, ab’eby’okwerinda bwebalumba olubiri lwe ngennaku zomwezi 27 mu Novemba wa 2016, olutalo olwafiiramu abambowa 203.

Leave a comment

0.0/5