Bya Prossy Kisakye, Eyaliko senkagale w’ekibiina kya FDC, Dr. Kizza Besigye ategeezeza nga bwebali muntekateeka ez’okutuuza olukungana tabamiruka olugenderedde okukubaganya ebirowoozo na bakwatibwako ensonga ezigenda mu maaso mu ggwanga kko ne bannauganda okutwaliza awamu n’oluvanyuma bateme empenda ez’okuzisalira amagezi
Bino abyogeredde mu lukungana lwa bannamawulire lwatuuziza mu kampala nalaga obwenyamivu olwobutali bwenkanya obugenda mu maaso mu byobufuzi, ebyenkulakulana ne mbeera zabantu.
Anokodeyo embeera embi abavuganya gavumenti gye bakwatibwamu, ekibba ttaka ekirese abantu nga babundabunda, okulinnya kwebisale mu matendekero aga waggulu ekivirako abayizi okuwanduka mu masomero.
Besigye agambye nti bino byonna biraga obutali bwenkanya obugenda mu maaso mu ggwanga nga kyetaagisa bannauganda bonna okwerwanako okusobola okubivunuka.
Kati agambye nti gavumenti eyabantu yakulangirira olunnaku n’ekifo, awanatuula olukugaana olwa National Convention.