Bya Sadat Mbogo.
Wano e Mpigi Police ekutte omusomesa wa myaka 32 nga ono emulanga gwakudda ku kaana ka myaka – 14 n’akasobyako.
Joseph Kamukama nga ono yatwala police ye Buwama agambye nti omusomesa ono owa God’s Mercy Junior School ku kyalo Ssenyondo yaakwatiddwa oluvanyuma lwa maama w’omwana okutegeeza ku police.
Kamukama agamba nti mungeri yeemu bakutte n’akulira esomero lino, ubanga kizuuse nga yeyasindika akaana kano mukibiina omusomesa ono mweyali yekwese okukakana nga akasobezaako
Kati bano bonna bagenda mu kooti