Bya Ivan Ssenabulya
Ab’ekitongole kya A-Z Professional Counselling and Support Center bakwataganye nebitongole ebiraala okuli, BRAC Uganda ne MasterCard Foundation okusomesa, ebyobwongo mu baana abaali mu nkambi zabanoonyi bobubudamu, oba Psychosocial Care.
Omusomo guno gutandise olwaleero nga nga gwakubumbujja, okutukira ddala nga 23 April 2021 ku ttendekero lya BBIRA vocational training institute.
Gugenda kwetabwamu abayizi okuva mu nkambi okuli Rhino, BidiBidi, Imvep, Adranga, Lubuule, Kuku nendala mu mambuka ga Uganda.
Ssenkulu wekitongole kya A-Z Professional Counselling and Support Center Ali Male, gambye nti balubiridde okumanya ebizibu ebyakosa abaana bano, olwa ssenyiga omukambwe.