Skip to content Skip to footer

Omusomo gwabataka gutuuse

Bya Shamim Nateebwa

Ba Jjajja Abataka Abakulu b’obusolya banjudde enteekateeka y’omusomo gwa-Bazzukulu baabwe ogukwata ku nnono n’obuwangwa.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku Bulange e Mengo, omukubiriza w’olukiiko lw’abataka Omutaka Kayiira Gajuule ategeezezza nti bagenda kusomesa ku bintu bingi omuli; okwejjukanya ku bikwata ku buwangwa bw’aBaganda, engeri gyetuyinza okukuumamu obutonde bwensi okuyita mu buwangwa n’enno, ensengeka y’obukulembeze mu Buganda, n’ensonga ezikwata ku busika (ani ateekeddwa okusika?, ani asumika? n’engeri y’okukuumamu eby’obugagga by’abagenzi).

Omusomo gwakubeera mu Lubiri e Mengo ngennaku z’omwezi 20th/10/2017.

Leave a comment

0.0/5