Skip to content Skip to footer

Omusumba akabasanyizza omukyala

Serunjogi

Poliisi ye Bukomansimbi eriko omusumba w’abalokole gwekutte lwabigambibwa nti aliko omukyala gweyakabasanyizza.

Muhamad Nyerere akulira ekanisa ya  Butenga Miracle Center y’akwatiddwa ku bigambibwa nti yesozze enyumba y’omukyala ono n’amumalirako ekimiirimiiri.

Omukyala ategezezza nga omusumba ono bweyamenye oluggi lwe olw’emanju natuukira mu kisenge n’amukaka akaboozi.

Mukazi wattu agamba y’agezezzaako okukuba enduulu wabula Nyerere n’amusaba asirike aleme kumuswaza wabula n’amuwawabira ku poliisi.

Omwogezi wa poliisi mu bukiika ddyo bw’eggwanga Noah Sserunjoji akakasizza okukwatibwa kwa Nyerere n’ategeeza nga bwebataddewo akakiiko okunonyereza ku nsonga eno.

Wabula Nyerere bino byonna abyeganye n’ategeeza nga bwekigendereddwamu okuttatana erinya lye.

Wabula akkirizza nga bweyagenze mu nyumba y’omukyala ono wabula nga y’abadde akimye bintu bye by’amubanja.

Leave a comment

0.0/5