Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi e Kapchorwa eriko omuvubuka gwekutte, nga kigambibwa yakidde omusajja, gweyabadde alumiriza okwagala maama we namukuba akakumbi ku mutwe namutta.
Bino byabadde mu town council ye Kaprolon Muso Dominic owemyaka 25, bweyasse Cherop Moses owemyaka 53.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Sipi Rogers Titika akakasizza bino, ngagategezezza nga bwebagenda okuwereza mu kooti.