Skip to content Skip to footer

Omwana azaaliddwa n’amagulu ataano

Mulago hospital

Mu ddwaliro e Mulago waliwo omwana azaaliddwa ng’alina amagulu ataano

Omwana ono amagulu amalala asatu g’alina gamera kuva mu kiwato.

Ono ono era alina embiriizi nnya n’ebitundu by’ekyama bibiri

Omusawo akoze ku mukyala ono Dr Stanley Nahaima agamba nti omwana ono taliiko buzibu bwonna kyokka nga bagenda kumukolako sikaani okulaba oba bamulongoosa

Maama w’omwana ono ategerekese nga Margaret Awine wa myaka 37 era nga mutuuze we Bugiri.

Omwogezi w’eddwaliro lye Mulago, Enock Kusaasira agamba nti omwana ono kirabika yali alina kuba mulongo kyokka munne n’atakula.

Leave a comment

0.0/5