Skip to content Skip to footer

Omwana eyakubwa empiso enkyamu atandise okuvunda.

Bya Shamim Nateebwa.

 

Abazadde b’omwana ow’emyezi etaano basobedwa eka nemukibira oluvanyuma lw’omwana waabwe okutandiika okuvunda  omubiri gwona , nga bagamba nti kino kyatandika oluvanyuma lwokukubwa empiso enkyamu

Bano batuuze be Kyagwale mu district ya Hoima ,era nga omwana eyakubwa empiso ye Byamukama Ivan .

Okusinziira ku taata w’omwana ono Steven Kasigwa ,omwana wabwe yakubwa eddagala lya queine nga omusawo talitabudde ekivirideeko omubiri gwe gwonna okufanana nga gwebayokeza.

Kati bano basaba gavumenti okubayamba okukwata omusawo ono, ko nokubayamba okubajanjabira omwana waabwe.

 

Leave a comment

0.0/5