
Eyali akulira eby’embalirira ya Palamenti Samuel Wanyaka asindikiddwa e Luzira yebakeyo emyaka 10 lwakukumpanya bukadde bwa siringi 822.
Kkooti ewozesa abakenuzi era eragidde Wanyaka ono okuzza ensimbi zino.
Nga awa ensalaye, omulamuzi Paul Mugamba ategezezza nga bw’akalize Wanyaka emyaka gino gyonna afuuke eky’okulabirako eri abalala.
Wanyaka era siwakudda mu ofiisi ya gavumenti yonna mu myaka 10.
Nga ennaku z’omwezi 27th July 2015, Wanyaka y’asingisibwa omisango 3 okuli obukumpanya, okukozesa obubi ofiisi n’okubuzabuza ebitabo ebiraga embalirira.
Oludda oluwaabi lwategeeza nga wakati w’ennaku z’omwezi 13 August 2o12 ne December 2013 Wanyaka yezza obukadde 822 ezaali ez’okunonyereza kun tabula y’emirimu mu ggwanga.