Bya Sadat Mbogo
Poliisi mu district ye Mpigi etandise okunonyereza kungeri, abanntu abatanategerekeka gyebalumbyemu omukuumi wekitongole kyamakomera nebamubbako emmundu, kika kya AK-47.
Okusinziira ku poliisi, omukuumi Hadijah Katono bamubbyeko emmundu wakati mu nkuba eyabadde etonnya bweyabadde akuuma abasibe wali mu tawuni kanso ye Mpigi.
Kati omuddumizi wa poliisi e Mpigi Joan Wabwire, agambye nti okunonyereza kwabwe kulaga nti, ono yabadde ku ssimu ye ku WhatsApp agenze okujjukira ngemmundu bajibbye.
Eyerabiddeko nagagae agamba nti, ababbye emmundu eno bababdde nakasaale, era bajikwakudde nebeyokya ensiko.
Kati omukuumi ono agaliddwa olwokulagajjalira emmundu eno, nga poliisi egamba nti okunonyereza kugenda mu maaso.