Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi mu district e Rukiga etandise okunonyereza kungeri omulenzi ow’emyaka 15 gyeyakubiddwamu amasanyalaze nafa.
Omugenzi ategerekeseeko lya Reuben Turyasingura nga mutuuze we Rwenyanje mu gombolola ye Kamwezi e Rukiga.
Kigamboibw anti ono yabadde atambula ku luguudo lwe Kamwezi nalinnya ku wire yamasanyalaze eyabaddeegudde okuva ku kikondo, nakalirawo.
Okusinziira ku mwogezi wa poliiis mu bitundu bya Kigezi Elly Maate, omugenzi abadde mukozi wawaka ewomutuuze omu, mu towuni kanso ye Muhanga.
Poliisi egamba nti okunonyereza kugenda mu maaso.