Bya samuel ssebuliba.
Sipiika w parliament Rebecca Alitwala Kadaga akaladde naagaana ababaka ba parliament okuteesa ku nsonga z’okuggalirwa kwa Gen Kale Kaihura, nga ono mukaseera kano ali wano Makindye.
Kino ekiteeso kibadde kireteddwa omubaka we Kisoro omukyala Rose Kabagyeni, nga agamba nti abantu beeno baagala okumanya ekifa ku mwana waabwe kakano ali mu komera
Ono agambye palament nti omwana waabwe kayihura akaligiddwa okusukka esaawa 48, kale nga agwana kuyimbulwa alye butaala.
Wabula kino kitanudde ababade okubadde William Nzoghu , ne Guster Mugoya okumwambalira, nga bagamba nti zino ensonga ziri mu mikono gyabakola ku by’okwerinda, kale nga tewali nsonga lwaki parliament ezeyingizaamu.
Mukulamula speaker agambye nti ku nsonga zino parliament terina kyeyinza kugatako.