Bya Ruth Anderah.
Banamateeka abakikirira omubaka we Mukono munisipalite Betty Nambooze Bakireke badukidde mu kakiiko akalera edembe ly’obuntu nga baagala kayingire mu nsonga za muntu waabwe akyagaaniddwa okutwalibwa e bunayira ajanjabibwe.
Bano baagala akakiiko kano kakozese obuyinza bwako obukaweebwa mu kawayiro 53 aka ssemateeka okulagira police okuyimbula Nambooze agende e India okufuna obujanjabi.
Kinajukirwa nti ku lunaku lw’omukaaga Nambooze yagiibwa e Naggalama natwalinwa e Kiruddu okujanjabibwa, kyoka okuva olwo police ekyamugaanye okugenda e India ayongere okwekebejjebwa.
Kati ekiwandiiko kyabwe akakiiko kakifunye, era akadde konna kakwanukula
