Skip to content Skip to footer

Palamenti etabukidde bannamawulire

Parliament in session

Palamenti eragidde emikutu gy’amawulire gyonna okusindika bannamawulire abalala abanasaka aga palamenti bagyeyo abo bonna abamazeeyo emyaka egisukka mu 5.

Mu bbaluwa eyawandiikiddwa nga  9th March 2015, omuwandiisi wa palamenti Jane Kibirige agamba kino kigendereddwamu kulaba nga tewabaawo kyekubira yenna mu mawulire agasakibwa mu palamenti.

Kibirige agamba bannamawulire ababadde mu palamenti okuva mu 2009 balina okuva mu palamenti emikutu gy’amawulire gisindikeyo abapya nga era kyakutandika okuva nga 1 May 2015.

Wabula abamu ku babaka ba palamenti kino bakisimbidde ekkuuli nga bagamba tebebuziddwako ku nsonga eno.

Leave a comment

0.0/5