Skip to content Skip to footer

Panadol w’abasajja awonye ekkomera

panadol w'abasajja

Oluvanyuma lw’okumala omwezi mulamba mu kkomera e Luzira olw’oluyimba lwe olulimu obuseegu, omuyimbi Jemimah Kansiime bangi gwebamanyi nga  Panadol w’abasajja awonye kaduukulu.

Omulamuzi wa kkooti ye Makindye  Richard Mafabi panado w’abasajja amukirizza yeyimirirwe ku kakadde akatali kaabuliwo nga bbo 2 abamweyimiridde buli omu abadde wa bukadde 2 nazo ezitali zaabuliwo.

Kati Panadol ono alagiddwa okuddamu okweyanjula mu kkooti yeemu nga 29 omwezi ogujja bamusomera omusango ogumuleppusa.

Oluyimba lwa Nkulinze lweluleppusa Panadol  w’abasajja ono nga lukontana n’amateeka agakwata ku buseegu.

Leave a comment

0.0/5