Skip to content Skip to footer

Poliisi ekutte abagambibwa okutta omukadde

Bya Barbra Nalweyiso

Poliisi e Mityana eriko abantu 5 bekutte nga btaberezebwa okutemula Omukadde Yokaana Wonda owemyaka 52.

Omugenzi yali omutuuze ku kyalo Magonga mu gombolola ye Malangala, yasangibwa nga bamutemyeko omutwe ekiwuduwudu nekisulibwa ku kubo.

Abakwate kuliko Umal Senkumba owemyaka 25, Ssalongo Ibra Mugerwa 29, Asuman Ssempala owemyaka 40, Hasuman Ssempala 30 ne Isa Lukwaago nga bona batuuze ku kyalo Magonga.

Omubaka wa gavumenti e Mityana Isha Ntumwa, agambye nti baliko omuntu gwebakutte yeyasobodde okubatuusa ku balala.

Leave a comment

0.0/5