
Lumira mwoyo avuze emmotoka n’agiyingiza ku wankaaki w’ekitebe kino mu kitundu kye Leego mu kibuga ekikulu ekya Mogadishu.
Abakwambwe ba Al shabab bategezezza nga bwebedizza ekitebe kino wabula nga bino byonna tebinakakasibwa.
Ekitebe kino kikuumibwa amagye g’eggwanga lya Burundi wansi w’omukago gwa Africa ogulimu abajaasi ba Burundi abasoba mu 20000.