Bya Prossy Kisakye, Poliisi e Kisoro eriko abantu 2 betadde e mabega w’emitayimbwa ku bigambibwa nti benyigidde mu kutta omuntu.
Kigambibwa nti Richard Kalule ng’abadde mutuuze w’e Kibuli mu kibuga Kampala, yabadde akyaliddeko muganziwe eyategerekese nga Sarah Ainembabazi yattemudwa ku kyalo Kashija mu tawuni kanso y’e Rubuguri mu disitulikiti.
Kalule muganziwe yamusanze mu baala ne banne omu kubo ategerekese nga Saul Natukunda nasituka namufuta ebisso ebyamuttidewo.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate atubulidde nti bakuteko 2 ngokunonyereza bwekugenda mu maaso.
Omulambo gwe gutwaliddwa mu ddwaliro e Rubuguri okwongera okugwekebejja.