Skip to content Skip to footer

Poliisi esazeeko Busaabala

Bya Ivan Ssenabulya ne Ritah Kemigisa

Poliisi ekutte abategesi bebivvulu bya Kyarenga Etra okuli Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abitex ne munne Bajjo.

Bano bakwatiddwa ku road bulooka esooka, kwezo ezatereddwawo, ngoyolekera Busabala.

Poliisi bano kitegezeddwa nti ebatutte bagwlaiddwa e Kibuye.

Kino kidiiridde poliisi okusazaamu ebivvulu bya Bobi Wine, byonna ebyabadde bitegekeddwa.

Mu kiwandiiko otwala ebikwekweto bya poliisi Asumana Mugyenyi kyeyafulumizza, yagambye nti abategesi tebagoberedde mitendera.

Bbo abantu abajira mu taxi okudda e Busabala bajibwamu, nebatambuza bigere nga mmotoka zikoma ku musanvu ogusoka.

Kati ebyokwerinda binywezeddwa e Busabala nga poliisi yebulunguludde ekifo ekya One Love Beach awabadde wasubirwa okubeera ekivvulu kya Kyalenga.

Mungeri yeemu twogeddeko nabamu ku badigize ababde bazze, okulya ku ssente zaabwe ngenjogera bweri.

Bano bakukuluma.

Ate poliisi yoku nguudo erabudde abagoba bebidduka ku kuvuga nga batamidde, biseera bino ebybeikujjuko bya Easter.

Omwogezi wa poliisi yebidduka Charles Sebabulinde agamby nti abasirikale baabwe, bali bulindaala ku nguudo, okukwata bonna abanamenya amateeka gokunguudo.

Kat alabude abantu eraokufaayo okwebejja obulungi emmotoka zaabwe, nga tebanatambula.

Leave a comment

0.0/5