Skip to content Skip to footer

Poliisi etubidde n’emirambo

accident scene 2

Poliisi mu kampala ekyatubidde n’emirambo gy’abantu ababiri abaafiridde mu kabenje abagudde e Kyambogo olunaku lwajjo.

Ababiri bano baafiriddewo mbulaga mu kabenje akeetabiddwaamu mmotoka kika kya Toyota Nadia  ne baasi.

Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, Ibin Ssenkumbi agamba nti byebakafunawo biraga nti akabenje kano bavudde ku dereeva eyabadde atamidde nga waliwo n’amacupa g’omwenge agasangiddwa mu mmotoka

Emirambo egitannafunako ekima giri mu ddwaliro e Mulago era nga tegiriiko biwandiiko byonna

Leave a comment

0.0/5