Bya Ben Jumbe.
Police ekakasizza nga bwenywezeza eby’okwerinda mu kitundu kya West Nile naddala ewagenda okubeera okuziika kw’omubaka wa Arua Municipality Ibrahim Abiriga .
Olunaku olw’eggulo waabadewo okulwanagana mumaka ga Abiriga, abakungubazi bwebaatabuse nabatandika okukuba abantu , nga kwogasse n’okwonoona ebintu, ekyawalirizza police okukuba omukka ogubalagala mu bantu.
Kati leero twogedeko n’ayogerera police ye West-Nile Josephine Angucia nagamba nti police eyiiriddwa mubuli kasonga nga eyambibwako n’amagye ga UPDF okulaba nga embeera teddamu okuba mu nteeko.