Bya Ben Jumbe ..
Nakaakano obubaka obukungubagira omuyimbi ow’erinya Mosey Radio bukyayiika, nga n’obwakasembayo buvudde eri Omukulembeze we gwanga Yoweri Museveni .
Mubukabwe, president ayogedde kumugenzi nga omusajja abadde munabitone , kale nga okufaakwe kusaanyizawo ebiserabye ebyomumaaso.
president agambye nti abade yakawaayo obukadde 30 eri ensawo ey’okujanjaba Radio, kyoka naye kimubuuseko okutegeezebwa nti afudde.