Ng’akalulu kajja keyongeramu ebbugumu, mu Busiro y’obukiikakkono, aba NRM beegasse okufumuula ali mu kifo kino prof Gilbert Bukenya
Bano abakulembeddwamu Patrick Nakabaale bagamba nti Bukenya yatandikawo ekibiina ekikye ekya pressure for National unity kale nga tasobola kwetaba mu kamyufu k’ekibiina kyeyavaamu
Ono agambye nti mukakafu nti ekibiina kyakigoberera amateeka okulaba nti bannakigwanyizi tebalya bitali byaabwe
Akamyufu ke Wakiso kayongezebwaawo lwa nsonga za birondesa okulwaawo okutuukayo nga nakati tekakwatibwanga.