Bya Dmalie Mukhaye
Omumyuka wa ssenkulu ku ttendekero lye Makerere Prof Barnabas Nawangwe atandise okwaundikira, abakulira amatabi agenjawulo, ngabaagira bayite abakozi baabwe bade ku mirmu mu bwangu.
Mu bbaluwa gyawandikidde Prof Bernard Bashaasha, akulira College of Agriculture and Environment Science, Nawangwe agambye nti akizudde nga tewali, musomesa yali alabiseeko mu kibiina, okuva olusoma lwatandika.
Agambye nti okujjako, nga bafunye okwemulugunya mu buwandiike nti bali mu kediimo, nayenga waliwo nabatakwatibwako ku kediimo akagenda mu maaso, abasalawo obutakola.
Abalala agambye nti abasoma amateeka, tebasomangako, nga kuno akuyise kwebulankanya ku mirmu.