Skip to content Skip to footer

Pulezidenti awolerezza amaggye mu NAADS

Salim Saleh and Gen Katumba Wamala 2

Pulezidenti Museveni ayongedde okunyonyola lwaaki enkola ya NAADS yalina okuyiibwa

Ng’asisinkanye bannamaggye abagenda okulondoola enteekateeka eno, pulezidenti agambye nti ku buwumbi 200 ezaali zisindikibwa mu nteekateeka eno, obuwumbi 95 zokka zeezali zikozesebwa kati ezisigadde neziriibwa

Pulezidenti agamba nti okuyingiza amaggye mu nteekateeka eno akakasa kyakuyamba nnyo okutaasa ensimbi y’omuwi w’omusolo ebadde eyiika

Enteekateeka ya NAADS yatandika mu mwaka gwa 2001 n’ekigendererwa ky’okutumbula ennima y’omulembe kyokka nga tevuddemu bibala biri awo

Leave a comment

0.0/5