Bya Abubaker Kirunda
Poliisi mu disitulikiti ye Butaleja balagiddwa okukwata omusomesa, agambibwa okukakana ku kaana aka P6 nakawasa.
Omubaka wa gavumenti e Butaleja Stanely Bayole, yakoze ekiragiro kino.
RDC alagidde nti bamukwate nomukulu wessomero lya Mabele P/S, nga kigambibwa nti yetaba mu nteseganya zokufumbiza omwana atanetuuka nabazadde.
Alaze okutya olwomuze gwokufumbiza abaana abatanetuuka ogweyongedde.