Bya Benjamin Jumbe
Omukulembeze we’ganga Yoweri K. Museveni asabye banna-Uganda mu bifo ebyesudde mu byalo okwewala okujja mu kibuga Kampala ne Wakiso, kubanga disitulikiti zino ebbiri, mwemusinga ekirwadde kya ssenyiga omukambwe.
Bino webijidde nhgemiwendo gyabadde gigenze gipaluuka, mu kabanga akayise wakati mu muyaga ogwokubiri ogwa COVID-19.
Bwabadde ayogerako eri egwanga akawungeezi akayise, Museveni agambye nti bwebaba tebalina nnyo kibaleeta mu kibuga tekyetagisa kumala gajja.
Anokoddeyo abetagisa ennyo mu kibuga era abatayinza kukyewala, gamba abali mu busubuzi naye abalala babyesonyiwe.
Kati agambye nti olukiiko oluvunayizbwa ku kulwanyisa ssenyiga omukambwe, lugenda kuddamu okutuula ku lunnaku Lowkusattu okusalaow ekisaanye okukolebwa.
Wetwogerera nga Uganda erina ablwadde ba ssenyiga omukambwe emitwalo mu 6,623 wabulanga olunnaku lweggulo lwokka, abawadde abapya 700 bebafunise.
Bbo abantu 362 bebakafa ate emitwalo 4 mu 3,401 nebawona.
Mungeri yeemu, omukulembeze we’gwanga asabye abantu bonna kwongera obwerinde ku kirwadde kya ssenyiga omukambwe.
Kati agambye nti abantu basaabye okuva mu kubalaata, baddemu okugoberera amateeka nebiragiro ebyatekebwawo ku kirwadde kino.
Omukulembeze we’gwanga, assubirwa okuddamu okwogera eri egwanga wiiki etandika okulanagirirra amateeka amapya nebiragiro ebijja.