- Eyali akulira ekitongole kya gavumenti ekikessi Gen David Sejusa kyaddaaki ayimbuddwa
Sejusa akwatiddwa enkya ya leero bw’abadde awuubira ku bagoba ba bodaboda ababadde bamwetolodde era n’atwalibwa ku poliisi y’oku luguudo oludda e Jjinja.
Ono akwatiddwa okumala essaawa nya n’oluvanyuma nebamuyimbula oluvanyuma lw’okukola sitatimenti
Omuduumizi wa poliisi mu kampala n’emiraano Haruna Isabirye agamba nti ono bamulabudde okwewala okukuba enkungaana mu bumenyi bw’amateeka.