Skip to content Skip to footer

Sijja kuwolera ggwanga-Lukwago

 Lukwago

Loodi meeya wa kampala Erias Lukwago aweze obutawolera ggwanga eri abo  bonna abamutwalaganya okwagala okumusuuza entebe y’obwa loodi meeya.

Lukwago mu ssanyu eryekitalo era yeebazizza banakampala bonna abayimiridde naye mu kawefube w’okudda mu ofiisi ye.

ono era agamba mwetegefu okukolagana n’omuntu yenna atwala ekibuga mu maaso mu ngeri y’obwenkanya nga tewali alumiziddwa.

Lukwago yali yakoma okulinya mu ofiisi nga 25  November w’omwaka oguwedde nga era yaweze nti kyekiseera okuddamu okuwereza bannakampala.

Leave a comment

0.0/5