Bya Kyeyune Moses
Nampala wababaka abavuganya gavumenti era omubaka wa munispaali eye Kiira, Ibrahim Ssemujju Nganda ategezeza nti tagenda kwetaba mu nsisinkano eno, ngaweze nokukunga babaka banne obutagyetabamu.
Ssemujju naye agamba nti akakiiko kaava ku ntekateeka eyalina okugoberewa.
Aye yye omubaka owa Igara West mu palamenti Raphael Magyezi yemulugunya olwokulwisaawo ebbago lye, lyeyaleeta songa agamba nti lyagalwa nga keeki.
Bwabadde ayogerako naffe Magyezi agambye nti entekateeka zitambudde kasoobo ssi bwati bweyasubira.