Skip to content Skip to footer

Byanyima yegaanye okwesimbawo

Bya Ivan Ssenabulya

Akulira ekitongole kya Oxfam International Winnie Byanyima azeemu okwesammula ebyokwesimbawo okuvuganya ku bukulembeze bwe gwanga mu kalulu ka bonna akanaddako.

Bwabadde awayaamu nabomukuttu ogwa BBC oluvanyuma lwokuzza obugya endagaano ye ku Oxfam, Byanyima agambye nti kyalubiridde mu kiseera kino kwekulanirira eddembe lyabatalina bopgerero, mu nsi yonna okusukka ku Uganda.

Winnie Byanyima nate yawererddwa emyaka 5 nga Executive Director wekitongole kino.

Nate ono avumiridde ekyokutigatiga mu ssemateeka, okujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga.

Agambye nti baali babaga ssemateeka nebasaamu ennyinmgo nga 102/b okutaasa banansi ku bakulembeze abayinza okweremeza mu buyinza, naye nti kya nnaku okuba nga ne kkomo ku bisanja byajibwawo.

Agambye wakugenda mu maaso okwogera nokuvumirira ebikyamu waddenga tali mu buyinza.

Leave a comment

0.0/5