Skip to content Skip to footer

Ebya Kigongo ne mukyala we batabuse

Kigongo the man

Ensonga z’amyuka ssentebe w’ekibiina kya NRM Alhajji Moses Kigongo n’eyali mukyala we Olive Kigongo zirinnye enkandaggo.

Omulamuzi Yorokamu Bamwine asisinkanye ababiri bano oluvanyuma lw’omukyala okuddukira mu kkooti ng’ayagala asigaze ekizimbe kya Mosa  courts

Omulamuzi Bamwine afubye bano okubatunuza mu ky’okuteesa nga basise muguwa mu kkooti kubanga kibawebuula bonna

Kigongo agamba nti tasobola kuviiramu awo emyaka egisoba mu 20 gy’amaze ewa Kigongo ng’ayagala afune emigabo mu kizimbe kino.

Ng’ayita mu munnamateeka we Peter Walubiri,Mukyala wa Kigongo agamba nti Kigongo yamukasuka okuva mu kizimbe n’atuuka n’okumulemesa okukuba amasimu.

Wabula mu kumuddamu, Kigongo agambye nti omukyala ono nakigwanyizi kubanga tamuwasangako kubanga tayawukananga na bba eyasooka Francis Babu

Leave a comment

0.0/5