Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akakola ku butonde balumbye minisita akola ku byobutonde olw’okulemererwa okuwera obuveera.
Ng’alabiseeko mu kakiiko , minisita Kamuntu agambye nti okuwera obuveera kizibu okutuukiriza kubanga kirimu ebyobufuzi nga n’okulonda kutuusa kale nga kizibu
Kino nno kinyiizizza ababaka abasabye minisita ajje ebyobufuzi mu nsonga z’obutonde kubanga tewali kijja kukolebwa
Ababaka okuli Hanifer Kawooya,Regan Okumu, ne Grace Byarugaba baweza nga bwebajja okugaana okuyisa embalirira ya minisitule eno ssinga obuveera tebuwerebwa
