Skip to content Skip to footer

Ebizimbe bigguddwaawo

Typhoid bizness closed

Ab’ekitongole kya Kampala Capital City Authority olwaleero bagguddewo emizimbe bina ku ebyo omusanvu ebyaggalwa olw’omusujja gw’omu byenda guyite Typhoid.

Kiddiridde ensisinkano gyebabaddemu ne bannanyini bizimbe bino.

Amyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba agamba nti basazeewo okuggulawo ebizimbe bino oluvanyuma lwa bannanyini byo okutuukiriza ebisanyizo.

Ebimu ku bizimbe ebigguddwa kuliko ekya Mini price, Qualicel, Naiga Acade ne Cooper Complex.

Abantu 2 beebakafa obulwadde buno ate ng’abali mu 1000 beebatoba n’obulwadde buno

Bbo nno abasuubuzi wansi w’ekibiina kya KACITA basabye bannanyini bizimbe okugoberera amateeka ga KCCA kubanga bakosebwa buli lwebatagoberera

Omwogezi wa KACITA Issa Sekito agamba nti mu kadde kano bakola asala olw’ebizimbe ebiggale ng’ate tebajja kubasalira ku nsimbi.

Leave a comment

0.0/5