Kamalabyona wa Buganda Charles Peter Mayega akubye omulanga ogutakungula eri abagagga mu kibuga naabo bonna abakoze ku nsimbi okuddanga mu byalo bafe ku bakadde baabwe .
Katikiroagambye nti aliko abagagga batayagadde kwatukiriza mannya abali obulungi nga naye nga ku kyalo gyebava tewegombesa nga n’abaabwe bali bubi nnyo.
Okwogera bino abadde ku kyalo Nkulagirire mu gombolola ye Nakifuma e Kyaggwe mu kukungaanya ettofaali olwaleero.
Ategezezza nti bino tebigwana mu Buganda nga tulwana okugizza ku ntikko.
Webuwungeredde ng’ensimbi ze ttofaali obukadde obusoba mu 70 zeezakasolozeebwa nga kati olunaku lwenkya wakutalaaga ebitundu bye Nakisunga.