Bya Ivan Ssenabulya
Nampala w’oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Ibrahim Ssemujju Nganda ategezeza nga bwawandiikidde speaker wa palament ngamutegeeza akyuse mu kusalawo kwe ku nsonga zobukulembeze bwakakiiko akanonyereza ku nzirukanya yebitongole bya gavumenti aka COSASE.
Wakyaliwo enkayana ezamaanyi ku nsonga zobukulembeze bwakakiiko kano nga speaker Rebecc Kadaga yalagira, babongere obudde okumaliriza okunonyererza kwebaliko ku banka ye gwanga enkulu, wansi wa ssentebbe Abdul Katuntu waddenga ekisanja kyabwe kigenda kugwako.
Ssemujju agamba nti speaker kyayagala okukola kimenya amateeka ga palamenti kwetambulira, ngekiyinza okukolebwa, bwebukulembeze bwa ssentebbe omugya Mubarack Munyaggwa okukiriza abaddeko bagira bakola.