
Ekibiina ekigatta bananyini ziwoteeri ssibasanyufu n’ekya palamenti okwanja etteeka erigaana abantu okunywera sigala mu zi woteeri.
Etteka lino liragira omunywi wa sigala okumunywa nga ali mita 50 okuva ku woteeri, ebiriiro by’emmere, amabaala n’ebifo by’olukale ebirala.
Etteeka lya taaba lino era terikkiriza Muntu kufuweta sseggereti kumpi n’ekisaawe ky’enyonyi okugyako nga ali mita 50.
Etteeka lino era lizingiramu ebifo by’olukale ebirala okuli amalwaliro, amasomero amakolero n’ebirala.
Akulira ekibiina kino Jean Byamugisha ategezezza nga palamenti bw’erina okuyita bonna bekikwatako nga tenayisa tteeka lino erikyakubaganyizibwako ebirowoozo kubanga kkakali bulala.
Mungeri ekibiina ekigatta abasuubuzi bomu Kampala ekya KACITA basabye palamenti erowoze nyo ku bisoboka nga bateesa ku tteeka ly’okufuweta sigala.
Abasuubuzi bagamba etteeka lino lyakukosa abatunda sigala abasoba mu mitwalo 3.
Ssentebe w’ekibiina kino Everest Kayondo agamba ebbago ly’etteeka lino kakali bulala kale nga liringa eriwera okufuwetera ddala sigala.
Ateesa nti abo bonna abalwanyisa okufuweta sigala bandisabye watekebwewo ebifo by’essalira abantu webalina okunywera sigala mu bifo eby’olukale mu kifo ky’okwagala okuwera okumufuwetera ddala.