
Ekikangabwa kigudde ku kyaalo Kattabalanga ekiri mu gombolola ye Kitenga e Mubende ssemaka bwakakkanye ku mwana we n’amusalako omutwe oluvanyuma neyetuga.
Bernard Kajura ow’emyaka 60 akkakkanye ku mwana we ategerekese nga Ronald Mwesigye ow’emyaka 12 n’amutta ng’asoose ku musalako mutwe, olwo neyeteeka ku mulabba gw’enyumba neyetuga.
Mwanyina wa semaka ono Dementria Tugumisiriza agambye nti mwanyina yamukubidde essimu ng’amutegeeza nga bw’ayagala okumukolera ekiraamo akisseeko omukono ng’amukulu we era ng’ategeeza ng’abaana ababiri abali ewaka bwebatali babe nti omukazi gw’alina yabenda walala okuli n’omuto attiddwa.
Ssentebe w’ekyalo Kattabalanga Fred Mugerwa ategeezezza nti omusajja ono yasoose kutwala mwana mu kirabo kya mwenge kyokka kibewunyisizza okukeera ku makya ng’omwana attiddwa naye nga yesse.
Abatuuze bagamba nti mukazi we abaddemu embaliga ne muliranwa waabwe era baludde nga bapepeya ekiro n’omusiguze ekijje omusajja mu mbeera.