Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina kya UPC kikungubagidde abadde sentebe wekibiina mu ggwanga lyonna, Lawrence Okae, eyafudde enkya ya leero mu ddwaliro e Naguru gyabadde ajanjabirwa.
Mu kwogerako ne radio eno akulira ebyamawulire mu UPC, Faizo Muzeyi, agambye Okae abavudde ku maaso mu kaseera akazibu nge ggwanga ligenda mu kalulu
Ayogedde ku mugenzi ngómusajja abadde ayagala ekibiina kye ku mutima ate nga ayagala nyo okutendeka abalala kyamanyi ku byobufuzi
Muzeyi agambye nti ekibiina kikwataganye naba famile era esaawa yonna bakuvaayo ne ntekateeka eyokuziika omugenzi mu kitibwa