Kyaddaaki kansala w’egombolola ye Makindye Allan Ssewanyana ayimbuddwa ku kakalu ka kkooti ka mitwalo 80
Abamweyimiridde 5 buli omu abadde wakakadde kamu ezitali zabuliwo.
Ku lunaku olwokutaano ssewanyana y’agulwako omusango gw’okwogera kalebule ku kampuni ya betting eya Top Bet nga bwebabba bakasitoma baayo wamu n’obutasasula bakozi baayo.
Ssewanyana alagiddwa okudda mu kkooti nga 22 April mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Pamela Ocaya bamusomere omusango gwe nga okunonyereza bwekukyagenda mu maaso.