
Entiisa ebuutikidde abatuuze mu ggombolola ye Lugusulu mu disitulikiti ye Sembabule oluvanyuma lw’okugwa ku mulambo gwa mutuuze munaabwe nga gulengejjera ku muti.
Omugenzi ategerekese nga Nathan Mugisha myaka 67 omutuuze ku kyalo Kasuula.
Kigambibwa nti ebizibu bya Mugisha byavudde ku muwala we kugaana kufumbirwa musajja gweyabadde amufunidde.
Okusinziira ku ssentebbe we kyalo Ibrahim Kasuula Munyasi, omusajja ono eyabadde atwala omuwala yabadde abasuubizza obukadde 2, sukaali n’ente byonna byeyasubiddwa
Wabula kitegezeddwa nti omuwala okwefuula kyaddiridde okugenda mu musaayi ng’omusajja alina mukenenya.
Ayogerera poliisi mu kitundu Noah Sserunjogi akakasizza bino n’ategeeza nti byandiba nga byebyamukase okwetta olw’okufiirwa ebintu.