Kamala byonna wa Buganda owek. Charles Peter Mayiga asabye abantu okwewalira ddala bannabyabufuzi ababagabira ensimbi
Ng’aggulawo Olukiiko lwa Buganda olusoose okutuula mu mwaka guno,kamalabyonna agambye nti abagaba ensimbi beebatalina busobozi
Agambye abantu bakimanye nti babbeyi tebalina kugulibwa bu ssente butalimu nsa.
Mu ngeri yeemu asabye abaami ba sabasajja okusomesa abantu federo olw’ensonga nti bangi tebagitegeera ate nga yeemu ku nsonga semasonga.
Ono anokoddeyo ku byakolebwa omwaka oguwedde omwali kunyweza Namulondo nga ssabasajja yasobola okutuuka mu masaza gonna.
Agumizza obuganda nti okuzimba enyumba ya muzibu azaala mpanga gutambula bulungi era nga bagoberera emitendera gyonna.