Minisita wa mazzi omugya Ronald Kibuule alagidde abatunda amazzi ekidomola obutasussa siringi 100.
Bino abyogedde atongozza amazzi aga National Water agatuuse ku kyalo Lwanyonyi nga abeeno bamaze ebbanga nga amazzi ga kekwa.
Abatuuze okusinga babadde bakozesa bidiba n’okulembeka ag’enkuba yadde nga ekitundu kino kyesudde kirometre emu yokka okuva ku luguudo lwe Jinja.
Minisita Kibuule alangiridde nti amazzi wonna mu gwanga gakugula ennusu ezitasuka 100/- kisobozese buli omu okugafuna, .
Ayongeddeko nti ye akimanyi abatunda amazzi bakola amagoba mangi kuba ekidomola National Water ekitunda 31/- kyatagenda kukiriza okunyigiriza abantu mbu ku mulembe gwe guno nga minister wamazzi.
Abamu abakola ebyobusubuzi betwogeddeko nabo bagambye kino tekijja kusoboka kuba Uganda tuli mu katale akekintabuli gavumenti tetekangawo miwendo gyankomeredde ku bintu, nga bebuuza wa kino gyeyakinawuudde.