Skip to content Skip to footer

Teri kukola kavuyo- aba NRM balabuddwa

NRM youths arrested

Bannakibiina kya NRM balabuddwa ku kukunga banaabwe okukola akavuyo mu ttabamiruka ategekeddwa e Namboole ku bbalaza

Akola nga ssabawandiisi w’ekibiina Richard Twodong agamba nti poliisi n’ebitongole ebirala ebikola ku bukuumi bitegeezeddwa ku bantu b’ekika kino era nga bakukwatibwa.

Twodong agamba nti enteekateeka zonna kyenkana ziwedde nga n’olukiiko olufuzi olw’okuntikko lwkausisinkana olw’omukaaga nga ttabamiruka tannaba kutuuka

Ebigambo bye bizze wakati mu bigambibwa nti waliwo abawagizi ba Mbabazi abategese okukola akavuyo e Namboole.

Leave a comment

0.0/5